1 Bassekabaka 10:1 - 29

  1. Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani olw'erinnya lya Mukama, n'ajja okumukema n'ebibuuzibwa ebizibu.
  2. N'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
  3. Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewaali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'a taamutegeeza.
  4. Awo kabaka omukazi We Seeba bwe yamala okulaba amagezi gonna aga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
  5. n'emmere e

1 Bassekabaka 9:1 - 28

  1. Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola,
  2. awo Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogw'okubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni.
  3. Awo Mukama n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza ennyumba eno gy'ozimbye okuteeka omwo erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeerangayo obutayosangawo.
  4. Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'ama

1 Bassekabaka 8:1 - 66

  1. Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bagiggya mu kibuga kya Dawudi, Sayuuni.
  2. Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu.
  3. Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko.
  4. Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo

1 Bassekabaka 7:1 - 51

  1. Sulemaani n'amala emyaka kkumi n'esatu ng'azimba ennyumba ye ye, n'amala ennyumba ye yonna.
  2. Kubanga yazimba ennyumba ey'ekibira kya Lebanooni: obuwanvu bwayo bwali emikono kikumi, n'obugazi bwayo emikono amakumi ataano, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu, ku mbu nnya ez'empagi ez'emivule, emiti egy'emivule nga ziri ku mpagi.
  3. N'ebikkibwako waggulu emivule ku mikiikiro ana mu etaano egyali ku mpagi; buli lubu kkumi n'ataano.
  4. Era waliwo embu ssatu ezitunuulirwamu, n'eddirisa nga lyolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu.
  5. Era emizigo gyonn

1 Bassekabaka 6:1 - 38

  1. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebina mu kinaana abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogw'okuna Sulemaani kasookedde afuga Isiraeri, mu mwezi Zivu gwe mwezi ogw'okubiri, n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama.
  2. N'ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu.
  3. N'ekisasi ekiri mu maaso ga yeekaalu y'ennyumba, obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi abiri, ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali: obugazi bwakyo mu maaso g'ennyumba bwali emi

1 Bassekabaka 5:1 - 18

  1. Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma abaddu be eri Sulemaani; kubanga yawulira nga bamufuseeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: kubanga Kiramu obw'edda yayagalanga Dawudi.
  2. Sulemaani n'atumira Kiramu ng'ayogera nti
  3. Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we ennyumba olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yabateeka wansiw'ebigere bye.
  4. Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna; tewali mulabe newakubadde akabi akajja.
  5. Era, laba, nteesezza okuzimbira erinnya lya Mukama

1 Bassekabaka 4:1 - 34

  1. Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna.
  2. Era bano be bakulu be yalina; Azaliya nutabani wa Zadooki, kabona;
  3. Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa; abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza;
  4. ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona;
  5. ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne abudi mutabani wa Nasani ye yali abona, mukwano gwa kabaka;
  6. ne Akisaali ye yali saabakaaki; ne kdoniraamu mutabani wa Abuda ye yali omusolooza.
  7. Era Sulenaan

1 Bassekabaka 3:1 - 28

  1. Awo Sulemaani n'abeera mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'atwala muwala wa Falaawo, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.
  2. kka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbirwa erinnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo.
  3. Sulemaani n'ayagala Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka yaweerangayo ssaddaaka era yayokeranga obubaane ku bifo ebigulumivu.
  4. Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuweerayossaddaak

1 Bassekabaka 2:1 - 46

  1. Awo ennaku za Dawudi ne ziba nga zinaatera okutuuka afe; n'akuutira Sulemaani mutabani we ng'ayogera nti
  2. Nze ŋŋenda bonna ab'omu nsi gye bagenda: kale beera n’amaanyi weerage obusajja;
  3. era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge; okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, ng'ebyo bwe biri ebyawandiiltibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'okola, na buli gy'onookyukiranga:
  4. Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuli

1 Bassekabaka 1:1 - 53

  1. Awo kabaka Dawudi yali mukadde era ng'akootakoota; ne bamubikkako ebyambalo, naye n'atafuna lubugumu.
  2. Abaddu be kyebaava bamugamba nti Banoonyeze mukama wange kabaka omuwala omuto atamanyi musajja: ayimirirenga mu maaso ga kabaka, amuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka afune olubugumu.
  3. Awo ne banoonya omuwala omulungi okubuna ensalo zonna eza Isiraeri, ne balaba Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
  4. Awo omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'atamumanya.
  5. Awo Adoniya mutabani w