Nsanyukira oluyimba

  1. Nsanyukira oluyimba
    Lwa bamalayika
    Lwe baayimba okulanga
    Okujja Kwa Yesu
    Nze sirina bulungi,
    Naye Mulyekka ku lwange
    Yesu okozi
  2. Mmanyi Mukama waffe
    Yafuuka omuto,
    Okulaga empisa ennungi
    Ffe tuzikwatenga.
    Era bwe naafubanga
    Okumufaanana
    Ye tannerabirenga,
    Kubanga anjagala.
  3. Siyinza kumulaba
    Kaakano n’amaaso
    Naye ennyimba zange
    Anaaziwulira.
    Bwe naamungonderanga,
    Alintuuusa ewuwe
    Ne mutenderezanga
    Nga bwe kisaanide

COME, O LONG-EXPECTED JESUS

  1. Come, a long-expected Jesus,
        born to set your people free!
        from our fears and sins release us,
    Christ in whom our rest
    shall be.
  2. srael's strength and consolation,
        born salvation to impart;
        dear desire of every nation,
        joy of every longing heart:
  3. Born your people to deliver,
        born a child and yet a king;
        born to reign in us for ever,
        now your gracious kingdom bring:
  4. By your own eternal Spirit
        rule in all our hearts alone;

NSANYUKIRA OLUYIMBA

  1. NSANYUKIRA oluyimba,
        Lwa bamalayika,
        Lwe baayimba okulanga,
        Okujja kwa Yesu,
        Nze sirina bulungi,
        Nnina ebibi bingi,
        Naye yakka ku lwange,
        Yesu mulokozi.
        Nsanyukira oluyimba,
        Lwa bamalayika,
        Lwe baayimba okulanga,
        Okujja kwa Yesu,
        Nze sirina bulungi,
        Nnin(a) ebibi bingi,
        Naye yakka ku lwange,
        Yesu Mulokozi.
  2. Mmanyi Mukama waffe,
        Yafuuka omuto,
        Okulaga empisa ennungi,

GGWE KIBUGA KYA BEESIREKEMU

  1. GGWE kibuga kya Beesirekemu,
        Tukutunuulire,
        Nga osiriikiridde nnyo.
        Mu maaso g'eggulu,
        Mu nzikiza mu nguudo zo,
        Omusana gwo guzze,
        Byonna bye watyanga edda,
        Biweddewo leero.
  2. Malyamu azadde Kristo,
        Omutabaganya,
        Abantu mu butamanya,
        Katonda abaagala,
        Ggwe Kristo, era ggwe Kabaka,
        Tukusuute leero,
        Oweebwenga ekitiibwa,
        Eyaleeta essanyu.
  3. Ayi Katonda nga watuwa,
        Yesu Omwana wo,

LABA OMWANA MU KIRAALO OMU

  1. LABA Omwana mu kiraalo omu,
        Ye Kabaka wa bakabaka,
        Talina kifo  okuzaalirwamu,
        Naye yeetika ebibi byaffe.
  2. Omwana oyo Omutukuvu,
        Omulokozi yeetoowaza,
        Okubeera mu nsi nga muwombeefu,
        Tulimulaba mu kitiibwa.
  3. Banabbi  bnagi abaamulanga,
            Ne  bamalayika baayimba,
            Bo ne bagamba nti azaalidwa,
            Asaanidde nnyo ekitibwa.

KU LUNAKU LUNO

  1. KU lunaku luno,
        Yesu ow'okwagala,
        Leero yazaalibwa,
        Eno ye Ssekukkulu.
  2. Leka tumusinze,
        Omulokozi waffe,
        Mumuwe ekitibwa,
        Nga mujaguza leero.
  3. Yesu ye kwagala,
        Ye atwagala fenna,
        Naffe tumwagale,
        Kubanga ye yasooka.

YE KIGAMBO WA KATONDA

  1. YE Kigambo wa Katonda,
        Kristo Yesu Omwana we,
        Ye n'afuuka omubiri,
        N'abeerako gye tuli,
        Ne tulaba omusana
        Okumulisa enzikisa
        Emirembe n'emirembe.
  2.     Eyatonda  ebintu  byonna,
        Era    awatali ye,
        Tewaakolebwa ekintu,
        N'ekimu ekyakolebwa,
        Obulamu bw'ali mu ye,
        Atutukuza fenna.
  3. Bwe baaliga banabbi,
        Ab'amagezi edda n'edda,
        Mu kitabo ekyawandiikibwa,
        Ensuubi lye ettukuvu,
        Eyazalibwa okubeera,

KINO KYA KITALO NNYO

  1. KINO  kya kitalo nnyo,
        Ekitalabwanga,
        Emirembe gizze nno,
        Mu nsi  yaffe muno,
        Ka tuyimbe nate,
        Ekitibwa eri Katonda
        N'emirembe mu nsi.
  2. Bayimbira Kabaka
        Mukama w'eggulu,
        Ensozi n,ebiwovu,
        Mwenna musanyuke,
        Fenna  ka tuyimbe,
        Ekitibwa eri Katonda,
        N'emirembe mu  nsi.
  3. Entiisa y'omulabe
        Leero tekyaliwo
        Yesu Mukama waffe,
        Azaaliddwa  leero,
        Tuyimbe n'essanyu,
        Ekitiibwa eri Katonda

BAANI ABAYIMBA, TOBAWULIRA

  1. BAANI abayimba, tobawulira,
        Laba abasumba bafukamidde,
        Ssanyu, Sssanyu ssanyu, lize mangu nnyo,
        Obulokozi bwe butuuse mu nsi.
  2. Bbbanga ddene ddala twali mu kibi,
        Nga tewali  ddembe, wabula obuddu,
        Kale nno atuuse okutufuga ffe,
        Wa kisa, wa maanyi, Omulokozi.
  3. Kale naffe fenna tumukirizze,
        Ffe fenna tweweeyo mu bufuge bwe,
        Ku lwaffe eyeewayo ffe tulamuke,
        Mumusinze, Omulokozi.
  4. Kale naffe fenna tumukirizze,
        Ffe fenna tweweeyo mu bufuge bwe,

OWANGE MUNNANGE, JJUKIRA, JJUKIRA

  1. OWANGE munnange, jjukira, jjukira,
        Owange munnange, jjukira nno,
        Buli kiseera bwe kiyita amangu nnyo,
        Naye ggwe jjukira, weekebere.
  2. E Besesirekemu, owange munnange,
        Eyo  e Beesirekemu, gyazzaliddwa,
        Eyo  yeetoowaza n'afiira ku muti,
        Olw'okutulokola ffe mu bibi.
  3. Kale mumwebaze leero mu mbaga eno,
        Nga  mumuyimbira n,essanyu nnyo,
        Kale tujaguze nga tumuyimbira,
        Era tusinze nti  Mulokozi.