MU BIRO EBY'EMPEWO

 1. MU biro eby'empewo
      EBeesirekemu,
      Muwala omulongoofu,
      Yazaala Omwana we.
 2. Musanyuke mwenna
      Muyimbe ettendo lye,
      Mujaguze, mujaguze,
      Yesu azaaliddwa.
 3. Yesu azaaliddwa,
      Mu kisa kye ekingi,
      Egye erya bamalayika
      Batendereza nnyo.
 4. Abasumba bazze,
      Okusinza Omwana oyo,
      Abalaguzi  batona,
      Mugavu ne zaabu.
 5. Ne bamalayika
      Basse okulamusa,
      Omwana oyo mu kisibo,

LEERO BAMALAYIKA

 1. Leero  bamalayika,
  bayimbira Kabaka,
  azaaliddwa gye tuli,
  Laba bwe yetoowaza,
  Ye afuuse Omuntu,
   okutugulumiza,
  Mujje ab'ensi zoona,
  Okumutendereza.
      Leero  bamalayika,
      Bayimbira Kabaka.
 2. Ffe  tujje tumusuute,
   Emanuweri waffe,
  Omwana w'omuwala,
  Yesu Omulokozi!

  Azze omusana gw'ensi;
  Okutumulisa fenna,
  tuleme okutambula
  mu nzikiza y’ekibi.
       Leero  bamalayika,
      Bayimbira Kabaka.

OMWANA YAZAALIBWA

 1. Omwana yazaalibwa,
      Ku  lwaffe mu nsi muno,
      Mukibuga kya Dawudi,
      Eyasuubizibwa eby'essanyu.
      Lunaku nga lukulu (n'ebirala).

          CHORUS
          Lunaku nga lukulu!
          Yesu lwe yajjirako,
          Kitegeezebwe wonna,
          Yesu bwe yazaalibwa.

 2. Abasumba baalaba
      Malayika ekiro,
      N'agamba nti Temutya,
      Mbaleetedde eby'essanyu,
      Lunaku nga lukulu (n'ebirala).

 3. Kristo Omulokozi
      Eyatonda ensi zonna,

MU KIBUGA KYA DAWUDI

 1. Mu kibuga kya Dawudi
  Eky'e Beesirekemu,
  Omwazalirwa Omwana,
  Mu kiraalo eky'ente,
  Omwana oyo ye Yesu,
  Nyina ye Maliyamu..
 2. Ye yakka mu nsi ku lwaffe,
  Ye Mukama wa byonna,
  Yabeeranga n'abakopi,
   Mu kyalo ekinyoomebwa,
  Yakwananga abanaku,
  N'asembzezanga ababi.
 3. Yesu mu buto bwe bwonna,
  Yalinga  muwombeefu,
  Yayagalanga nnyo nnyina,
  Ne bakulu be boona,
  N'abaana bonna mu nsi,
  Bakolenga bwe batyo.
 4. Edda tulirabagana,
     Olw'okwagala okungi,

MU KUJAGUZA OKUNGI

 1. MU kujaguza okungi
      Muyimbe n'essanyu lingi,
      Yesu ssanyu lyaffe,
      Ali mu kisibo,
      Yenna amasamasa ,
      Ku mubiri gwa nnyina,
      Yesu okusooka,
      N'enkomerero.
 2. Ayi Yesu, Omwana omuto,
      Ggwe gwe neegomba bullijjo,
      Nsasira, siraba,
      Omwana asinga bonna,
      Ku lw'obulungi bwonna,
      Ggwe ow'ekitiibwa,
      Nsembeza gy'oli,
      Nsembeza gy'oli.
 3. Obulungi bwa     Kitaffe!
      Ekisa ky'Omwana Yesu,
      Fffe endiga twakyama,

ABASUMBA BAALI BAKUUMA

 1. Abasumba baali bakuuma,
  Endiga zaabwe ekiro,
  Malayika n'akka ku nsi,
  N‘eyakaayakana.
 2. Mwe abasumba temwekanga
   Ndeese amawulire,
  Ag'essanyu lingi nnyo nnyini,
  Eri abantu bonna.
 3. Leero mu kyalo kya Dawudi,
   Era mu kika kye,
  Muzaaliddwa Omulokozi,
  Yesu lye linnya lye.
 4. Omwana munaamulaba,
  ng’azazikidwa eri,
  ng'abikkiddwa mu
  bugoye,
  mu kiraalo ky'ente.
 5. Amangu ne walabika,
  Mu ggulu ne ku nsi,
  Eggye erya bamalayika,

OMWAMI W'EKITIIBWA KYONNA BWE YAJJA KU NSI

 1. OMWAMI w'ekitiibwa kyonna bwe  yajja ku nsi,
      Abakopi n'abagenyi baamweyuna mangu,
      Bwe baalaba nga basinza  ne bamalayika,
      Baayimba: Ssanyu, Ssanyu, ssanyu nnyo,
      Tumutende, Omwami waff(e) era Omwami wamwe.
 2. Kale tumutende  tumusinze wa kitiibwa,
      Azze  leero tumulabye Mwami waafe ddala,
      Mutunuulire mwena, tumusembeze fenna,
      Tuyimbe, Omwami waff(e) era Omwami wammwe.

OBUDDE BWALI BWA TTUMBI

 1. OBUDDE bwali bwa ttumbi,
      Bwe baaluwulira,
      Oluyimba lw'ab'omu ggulu
      Abaatendereza,
      Emirembe gibe ku nsi
      N'ettendo mu gguru,
      Ensi yali nga esirise
      Okuluwulira.
 2. Ne leero bajja bwe batyo,
      Eggey ery'omu ggulu,
      Eddoboozi lyabwe libuna
      Mu bbangi  ery'ensi,
      Newankubadde nga bangi,
      Eebuluwulira,
      Eggye eryo likyaliwo,
      Nga litendereza.
 3. Emitawaana egye'nsi,
      N'enkaayana zaayo,
      Ebyo byonna bitugaana,

ABAKRISTAAYO BONNA AB'OMU NSI.

 1. Abakristaayo bonna ab'omu nsi,
  Mugolokoke leero n'essanyu,
  Mutendereze omulokozi,
  Eyazalirwa  e Beeserekemu,
  Bamalaikabe be baasooka,
  Okutendereza Omwana oyo.
 2. Abakristaayo bonna ab'omu nsi,
  Mugolokoke leero n'essanyu,
  Mutendereze omulokozi,
  Eyazalirwa  e Beeserekemu,
  Bamalaikabe be baasooka,
  Okutendereza Omwana oyo.
 3. Awo ekibiina ne kirabika,
  Eggye lyonna erya bamalayika,
  Nga bayimba oluyimba oluggya,
  Nga batendereza okwagala,
  Okwamuleta okuzalibwa,

MMWE MWENNA ABALONDE

 1. Mmwe mwenna abalonde,
  Mujje musanyuke,
  Mujje tugende e Beesirekemu,
  Gy'azaaliddwa
  Omwana wa Katonda.

  Chrous
  Mujje nno tumweyanze,
  Mujje nno tumweyanze,
  Mujje nno tumweyanze, Mukama.

 2. Katonda, Katonda,
  Ye musana gwa nsi,
  Teyagaana kufuuka omuntu,
  Katonda ddala,
  Omwana si mutonde,
 3. Mwe mwenna muyimbe,
  Enyimba ez'amatendo,
  Ab'omu ggulu mumuyimbire,
  Musuute Yesu, Mumutendereze,