1 Samwiri 20:1 - 42

Yonasaani atta omukago ne Dawudi

  1. Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama n'ajja n'ayogerera mu maaso ga Yonasaani nti Nkoze ki? buluwa obutali butuukirivu bwange? era kiruwa ekibi kyange mu maaso ga kitaawo n'anoonya obulamu bwange?
  2. N'amugamba nti Kiddire eri; tojja kufa: laba, kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono ky'atambikkulira: era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo?

1 Samwiri 18:1 - 30

Sawulo asunguwalira Dawudi

  1. Awo olwatuuka bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala ng'emmeeme ye ye.
  2. Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamaganya kuddayo nateeka mu nnyumba ya kitaawe.
  3. Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga yamwagala ng'emmeeme ye ye.
  4. Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe.
  5. Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayis

1 Samwiri 17:1 - 58

Dawudi ne Goliyasi

  1. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati We Soko ne Azeka mu Efusudammimu.
  2. Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwoavu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti.
  3. Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi: ne waba ekiwonvu wakati waabwe.
  4. Ne mu lusiisira olw'Abafrisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga ko oluta;
  5. Era

1 Samwiri 16:1 - 23

Dawudi afukibwako amafuta okuba kabaka

  1. Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Olituusa wa, okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be.
  2. Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita. Mukama n'ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.
  3. Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita.

1 Samwiri 15:1 - 35

Sawulo awonya kabaka Agagi

  1. Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Mukama Yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri: kale nno kaakano wulira eddoboozi ly'ebigambo bya Mukama.
  2. Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nekkaanya ebyo Amaleki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo, bwe yalinnya okuva mu Misiri.
  3. Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi omwana omuwere n’ayonka, ente n’endiga, eŋŋaamira n’endogoyi.
  4. Awo Sawulo n'ayita aban

1 Samwiri 14:1 - 52

Yonasaani awangula Abafirisuuti

  1. Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri. Naye n'atabuulira kitaawe.
  2. Sawulo n'abeera mu kitundu eky'e Gibea eky'enkomerero munda w'omukomamawanga oguli e Miguloni: n'abantu abaali naye baali abasajja nga lukaaga;
  3. ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro, ng'ayambadde ekkanzu.

1 Samwiri 13:1 - 23

Ekiweebwayo kya Sawulo ekimenya amateeka

  1. Sawulo yali nga yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
  2. Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu; ku abo enkumi bbiri baabanga ne Sawulo e Mikumasi ne ku lusozi olw'e Beseri; n'olukumi baabanga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini: n'abantu abalala bonna n'abasindika buli muntu mu weema ye.
  3. Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna.

1 Samwiri 12:1 - 25

Samwiri ayogera ku mattikirwa ga Sawulo

  1. Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti Laba; mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era nkoze kabaka okubafuga.
  2. Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso ganunwe okuva mu buto bwange ne leero.
  3. Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza?

1 Samwiri 11:1 - 15

Sawulo anunula Yabesugireyaadi

  1. Awo Nakkasi Omwamoni n'ayambuka n'asiisira okwolekera Yabesugireyaadi: abasajja bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti Lagaana naffe endagaano, naffe tulikuweereza:
  2. Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti Bwe ntyo bwe nnaalagaana nammwe, amaaso gammwe gonna aga ddyo gaggibwemu; nange ndikiteeka ku Isiraeri yenna okuba ekivume.
  3. Abakadde ab'e Yabesi ne bamugamba nti Tuwe ebbanga ery'ennaku musanvu tutume ababaka mu nsalo zonna eza Isiraeri: awo bwe wataliba ow'okutulokola, tulifuluma ne tujja gy'oli.
  4. Awo a