MUJJE MUSANYUKE

  1. Mujje musanyuke,
        Mujje tugende e Beesirekemu,
        Gy'azaaliddwa Omwana wa Katonda,
        Mujje nno tumweyanze,
        Mujje nno tumweyanze,
        Mujje nno tumweyanze Mukama.
  2. Katonda,, Katonda,
        Ye musana gwa nsi,
        Teyagaana kufuuka omuntu,
        Katonda ddala, Omwana si mutonde,
        Mujje nno tumweyanze,
        Mujje  nno tumweyanze,
        Mujje nno tumweyanze Mukama.
  3. Mwe mwenna muyimbe,
        Enyimba ez'amatendo,
        Ab'omu ggulu mumuyimbire,

LABA, ANAAWASA OMUGOLE EKIRO AJJA

  1. LABA, anaawasa omugole ekiro ajja,
        Abatukuvu, mufulume okumusisinkana,
        Mwe mwesibenga nnyo ebiwato byammwe n'ebimyu,
        Era ettabaaza zammwe zaakirenga ddala nnyo.
  2. Mwe abagayaavu n'ababi , ziribaasanga mmwe,
        Mwebase, temweteeseteese, mmwe mwerabidde,
        Abo bokka abeeteeseteese, ne bayingira,
        Mu mbaga ye, mmwe emuliyinza kuyingira.
  3. Olunnaku luno olw'omusango weeruli, naye
        Omwoyo gwange, tunula, toleka mulimu,
        Okuume nnyo ettabaaza, bw'atyo Omulokozi,

MULOKOZI WAFFE YATUGAMBA

  1. MULOKOZI waffe yatugamba,
        " Ndikomawo ku nsi, mwetegeke".
        Tetumanyi  biro w'alijjira,
        Naye tusuubira nga tulinda.
  2. Era essubi eryo lye yatuwa,
        Liritusanyusa ennaku zonna,
        Abaagalwa baffe batuleka,
        Naye assubi eryo litugumya.
  3. Abamuweereza mu  nsi muno
        Baweereddwa empeera mu maaso ge,
        Era baweereddwa n'omukisa,
        Emirimu gyabwe nga giwedde.
  4. Ku lunaku luli kw'alijjira
        Aliyita bonna abbebaka,
        Alibakugganya abatukuvu,

YESU OMULIDWA, JJANGU!

  1. YESU omulidwa, jjangu!
    Ffe tukukulindirira,
    Ebibi byonna otugyeko,
    Otuwummuze mangu.
  2. Ggwe ssubi ly'abantu bonna,
    Ggwe ssanyu ly'aboonoonyi,
    Amawanga gonna gonna,
    Gakwetaaga Katonda.
  3. Baakutuuma erinya Yesu,
    Eyanunula abantu,
    Wazalibwa nga Kabaka,
    Era ngo'mwana omuto.
  4. Olwo'omwoyo wa Katonda,
    Otufugire ddala,
    Beera mu ffe otuwe amanyi,
    Otutuuse mu ggulu.

EKIRO KIYISE

  1. EKIRO kiyise,
        Obudde bukedde,
        Kale twambule ebikolwa
        Eby'ekizikiza.
  2. TWAMBALE  AMAZIMA,
        NG'EBYKULWANISA,
        TUTAMBULE NGA TUWOOMYE,
        NGA TUJJUDDE ESSANYU.
  3. Ebyonoono byonna
        N'ebinyumu by'ensi
        N'embaga ez'okutamiira,
        Byonna tubyambule.

MUZUUKUKE! MMWE ABEEBASE

  1. MUZUUKUKE! Mmwe abeebase,
        Omukkumi atukoowoola,
        Zuukuka Yerusaalemi,
        Kaakano obudde ttumbi,
        Abawala ab'amagezi,
        Mujje, batukoowoola nnyo:
        Awasa omugole,
        Ajja, muyimuke!
        Aleruuya!
       Mujje nga mweteeseteese,
       Muje mumusisinkane.
  2. Saayuuni yenna awulidde,
        Okukoowoola kw'omukuumi,
        Bonna ne bajjula essanyu,
        Mukwano gwabwe akka ku nsi,
        Wa kitiibwa era wa mazima,
        Wa maanyi era wa kisa,
            Kale Yesu jjangu

MUSANYUKE ABALONDE

  1. MUSANYUKE abalonde,
        Abeesiga Yesu,
        Ettabaaza zammwe zaake,
        Obudde buzibye,
        Mukama waffe alijja,
        Kaakano  ali kumpi,
        Muyimuke mwekuume,
        Muleme okwebaka.
  2. Mukoleeze ettabaaza,
        Zaake mu nzikiza,
        Mulabe obulokozi,
        Bwammwe busembedde,
        Mukama bamulengera,
        Kaakano ali kumpi,
        Mugende nga muyimba,
        Okumusisinkana.
  3. Abawala a'bamagezi,,
        Muyimbe nnyo nnyini,
        Ennyimba ez'abamalayika,

YESU ALIJJA N'EBIRE

  1. YESU alijja n'ebire,
        Eyafiirira abantu,
        Abatukuvu be bangi,
        Wamu naye bayimba,
        Aleruuya!... x3
        Ajja wansi okufuga.
  2. Bonna baliraba Yesu,
    Ng'ali mu kitiibwa kye:
    N'abo abamuyigganya,
    N'abo Abaufumita,
    Balikaaba …x3
    Yesu bw'alirabiika.
  3. Wansi ne waggulu wonna,
    N'ebirimu biriggwaawo,
    Abaamulyamu olukwe,
    Baliwulira Yesu,
    Bw'alisala… x3
    Gubasinze, muveewo.
  4. Abeegendereza bonna,
    Abamulindirira,
    Balitwalibwa mu bbanga,

JJANGU GGWE OMUNUNUZI WAFFE

  1. JJANGU ggwe Omununuzi waffe,
        Ggwe Emmanueri, Kabaka waffe,
        Onunule Baisirayiri,
        Abaakyamira edda ewala ennyo,

    CHORUS

    Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi,
    Alikomawo mu nsi gye tuli.

  2. Jjangu, jjangu, Omwana wa Dawudi,
        Olokole ffe abali mu kibi,
        Tuwonye mu mikono gy'omubi,
        Eyatujooga mu bukuusa bwe.
            Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
            Alikomawo mu nsi gye tuli.