OMUKISA GWA KITAFFE

  1. OMUKISA gwa Kitaffe,
        N'ogw'Omwana we Yesu,
        N'ogw'Omwoyo Omutukuvu,
        Gukke ku myoyo gyaffe.
  2. ffe tubeere fenna wamu,
        nga tujjude okwagala,
        bwe tusseekimu n'essanyu,
        n'emirembe bulijjo.

KATONDA WANGE NKWEBAZA

  1. KATONDA wange nkwebaza,
        Olw'ebirungi ebya leero,
        Era nkusaba onkuume,
        Mu budde bwonna obw'ekiro.
  2. Onsonyiwe ebyonoono,
        Bye nsobezza olwa leero,
        Ompe emirembe mu mwoyo,
        Nga ηηenda okwebaka otulo
  3. Onjigirizenga bulijjo,
        Ekkubo lye naakwatanga,
        Bwe ntyo be ndituusa okufa,
        Nneme okutya entiisa yonna
  4. Mpummulire mu maaso go,
        Mu nzikiza nkweyabiza,
        Ne ndyoka ngolokoka enkya,
        Okukuweereza nate.

AYI KITAFFE OMUTONZI

  1. AYI Kitaffe Omutonzi,
        Ebitonde byo bikusinza,
        Ku lwa Yesu Omwana wo,
        Tukuume mu kiro kino.
  2. AYI OMWANA OMUNUNUZI,
        EYATUGGYA MU BUSIBE,
        EMYOYO GYAFFE GIKUUME,
        TUBEERE MIREMBE MU GGWE.
  3. Ayi Omwoyo ow'obuyinza,
        Atukuza Ekkanisa,
        Mu kiro kya leero, jjangu,
        Tukuza emitima gyaffe.
  4. Otenderezebwenga nnyo,
        Ggwe Kitaffe era n'omwana,
        Naawe Omwoyo Omutukuvu,
        Ggwe afuga emirembe gyonna.

AYI MUSUMBA OMUTEEFU

  1. AYI Musumba omuteefu,
            Yesu, olw'obulungi bwo,
            Ekiro beeranga nange,
            Nkuuma mu kizikiza.
  2. Ggwe ampa entanda yange,
        N'amaka n'ebyambalo,
        Ne mu b'emikwano bonna,
        Otuwenga ekisa.

OLUNAKU LWAFFE LUNO

  1. OLUNAKU lwaffe luno,
         Kaakano luweddeko,
         Enkya twebazizza Yesu,
         Tumusuute era ekiro.
  2. Naye wano nga buzibye,
        Awalala bukedde,
        Buli ssaawa wanaabeera,
        Abasuuta erinnya lye.
  3. Omusaana nga bwe gujja,
        Mu nsi ezitali zimu,
        Nga gwetooloola olukalu,
        Nga gugoba enzikiza.
  4. Bwe kutyo okutendereza
        Okw'abaana bo leero,
        Tekusirika mu bantu,
        Tekukoma n'akamu.
  5. Ffe tugenda okwebaka,
        Naye baganda baffe,

MULOKOZI WAFFE GGWE TWAGALA

  1. MULOKOZI waffe ggwe twagala,
        Tuyimiridde okusuuta ggwe,
        Tukwegayiridde tusiibule,
        N'emirembe, nga tufukamidde.
  2. Tuwerekere n'emirembe gyo,
        Tubeere naawe, nga bwe twakedde,
        Tukuumenga, tuleme okwonoona,
        Fee abasabidde mu nnyumba yo.
  3. Tuwe emirembe, Mukama waffe,
        Mu budde bw'ekiro otumulise,
        Tukuume lwa kisa ffe abaana bo,
        Enzikiza gwe musana gy'oli.
  4. Tuwe emirembe buli lunaku,
        Lwe tuteganyizibwa eby'ensi,
        Gitujjuze, era bwe tulifa,

BEERA NANGE, OBUDDE BUZIBYE

  1. BEERA nange,
    obudde buzibye,
        Enzikiza ekwata,
    beera nange,
        Sirina nze mubeezi mulala,
        Ggwe abeera abanaku,
    nange mbeera.
  2. Obudde bw'obulamu buziba,
        Bwaka katono ne buwungeera,
        Byonna eby'ensi
    bifuuka bidiba,
        Ggwe atadiba,
    atafuuka, tondeka.
  3. Nkwetaaga ggwe
    emisana n'ekiro,
        Kisa kyokka Ssetaani ky'atya,
        Katonda nage ne mpangula ebibi,
        Omusaana bwe gwaka, beera nange.
  4. Siriiko kye ntya,
    Yesu nga wooli,

NGA TEBUNNABA KUZIBA

  1. NGA tebunnaba kuziba,
            Tusaba Omutoni w'ensi,
            Olw'ekisa kyo ekingi,
            Ba Mukuumi waffe leero.
  2. Era bwe tuba twebase,
        Ebitutiisa biggyeewo,
        Tuwanguze obubi bwonna,
        Tubeerenga balongoofu.
  3. Ggwe Kitaffe tukusaba,
        Ku bwa Yesu Omwana wo
        Naawe Mwoyo Omutukuvu,
        Ggwe afuga emirembe gyonna.

GUWEDDEWO OMUSANA

  1. GUWEDDEWO omusana,
    Yesu tweyanza ggwe,
    Ekiro tukusaba,
    Tuleke ebibi,
    Mu budde obw'enzikiza,
    Aye Yesu, otukuumenga.
  2. Biweddewo kaakano,
         Bigambo bya leero,
         Omuolokozi, tuwonye,
         Mu maanyi g'ekibi,
         Mu budde obw'enzikiza,
         Ayi Yesu, otukuumenga
  3. Emirimu giwedde,
        Tukwegayirira,
        Otuggyeko akabe konna,
        Otuzibirenga,
        Mu budde obw'enzikiza,
        Ayi, Yesu, otukuumenga.
  4. Tukuume emyoyo gyaffe,

OBUDDE BUZIBYE

  1. OBUDDE buzibye,
        Enjoba egenze,
        Enzikiza ekwata,
        Mu bbanga ly'ensi.
  2. Buli nsolo yonna,
        Era n'ennyonyi,
        Byonna biwummula,
        Byebaka otulo.
  3. Ayi Mukama waffe,
        Ontunuulire,
        Kaakano nkusaba,
        Ompe ekisa kyo.
  4. Ebyonoono byange,
        Binkwasa ensonyi,
        Naye olw'ekisa kyo,
        Tongoba w'oli.

  5. Bwe neebaka otulo,
        Mu kiro kino,
        Bamalayika bo,
        Bajje bankuume.