KAAKANO BULI KINTU

  1. KAAKANO buli kintu,
        Ensolo n'ebimuli,
        N'abantu byebaka,
        Otulo tuikutte,
        Naye ggwe mwoyo gwange,
        Ofumiitirize bino.
  2. Eggulu litangaala,
        Obudde nga buzibye,
        Emmunyeenye ne zaaka,
        Katonda bw'alimpita,
        Ndigenda mangu gy'ali,
        Ne ndeka obuyinike.
  3. Bitundu byaffe byonna,
        Byesiima okuwummula,
        Emirimu giwedde,
        Bwe gutyo omwoyo gwange,
        Edda bwe guliteebwa,
        Gulijjua emirembe.
  4. Bwe twebaka, amaaso,

MUSANA MULUNGI

  1. MUSANA mulungi,
        Oli ne Kitaffe,
        Ow'ekitiibwa, ekingi,
        Wakka ku lwa ababi,
        Mulokozi Yesu,
        Twesiimye okukulaba.
  2. Nga tebunnaziba,
         N'enzikiza ng'ejja,
         N'ennyimba z'olweggulo,
         Tusuute Kitaffe,
         N'Omwana we Yesu,
         N'omwoyo Omutukuvu.
  3. Ggw'oli Mutukuvu,
        Tukutendereza,
        Yesu bulamu bwaffe,
        Wansi ne mu ggulu,
        Ensi ekusuuta,
        Teekomyenga ttendo lyo.

MU KISIBO KY'ENTE E BEESIREKEMU

  1. MU kisibo ky'ente e Beesirekemu,
        Mwe yazazikibwa, Yesu Omwana,
        Ne mmunyeenye ku ggulu nga zaaka nnyo,
        Omwana wa Katonda ng'azaaliddwa.
  2. Yesu teyatya nte nga bwe ziooa,
        N'abantu tebaamumanya, Omwana,
        Nze mwagala Yesu eyazaalibwa,
        Abeeranga nange wonna we mbeera.
  3. Beera kumpi nage, Omulokozi,
        Nkusaba okusembera wano we ndi,
        Tusaasire fenna, abaana abato,
        Tulyoke tubeere naawe mu ggulu.

KABAKA WANGE NSANYUKA

  1. KABAKA wange nsanyuka,
        Okwebaza ekitiibwa kyo,
        Enkya okusuuta erinnya lyo,
        N'okulinyumyako ekiro.
  2. Lunaku lwo lutukuvu,
        Lwa kitiibwa, lwa ssanyu nnyo,
        Muyimbe mwenna amawanga,
        N'essanyu lingi n'okutya.
  3. Bakozi b'obubi bonna,
         Bajja kusaasaanyizibwa,
         Baloka mangu n'omuddo,
         Naye balizikirira.
  4. Batukuvu ba Mukama,
        Banywera nnyo ng'omuvule,
        Kibuyaga tamenya bo,
        Baweereddwa okubeerawo.

OMPULIRE KITAFFE

  1. OMPULIRE Kitaffe,
        Ggwe Mukuumi wange,
        Beera kumpi nange,
        Onjijanjabenga.
  2. Ayi Mukama Yesu,
        Atuwa obulamu,
        Ka nziruke embiro,
        Okutuka gy'oli
  3. Ggwe Mubeezi waffe,
        Mwoyo wa Katonda,
        Laba nkwetaaga,
        Nsembeza, nnongoosa.
  4. Jjangu, Ayi Katonda,
        Tondekanga wano,
        Okuva kaakano,
        Tuula mu nda yange.

GY'OLI YESU TUWAAYO

  1. GY'OLI Yesu tuwaayo,
        Olunaku lwo luno,
        Bye lunaatuleetera,
        Ggwe wekka obimanyi nnyo,
        Tuleme okulwonoona,
        Otuwe emikisa gyo.
  2. Bwe lunaaleeta essanyu,
        Mubeezi waffe jjangu,
        Tuleme okutegebwa,
        Mu nkwe z'omulyolyomi,
        Tuli  mu lukoola ffe,
        Omulabe omugobe.
  3. Twagala kino kyokka,
        Okusiimibwa Yesu,
        Bw'anaaba akomyewo,
        Okutuyita leero,
        Atusange ffe fena,
        Nga tumulindirira.

 

GGWE MUSANA GW'OBULAMU

  1. Yakiranga ddala mu ffe,
        Ekizikiza kyonna,
        Ka kive mu myoyo gyaffe,
        Ng'otumulisa, emmambya,
        Ng'esaze.
  2. Enkuba nga bw'etonnya,
        Ku bimuli ne ku muddo,
        Bw'otyo bw'otufukako,
        Ekisa eky'omwoyo gwo,
        Ennyonta yaffe yonna,
        Eggweeewo.
  3. Ng'enjuba bw'emerusa,
        Ebibala eby'omu nsi,
        Bwe butyo obulungi bwo
        Bwe bumeza obutukuvu,
        Tukuweerezenga ggwe,
        N'essayu.
  4. Ggwe wekka ssuubi lyaffe,
        So tewali akwenkana,

ZUUKUKA GGWE OMWOYO GWANGE

  1. ZUUKUKA ggwe omwoyo gwange,     Busaasaanye,
        Era bukeeredde ddala,
        Zuukuka ove mu tulo,
        Waayo gy'ali,
       By'osobolera ddala
  2. Ssanyukira enjuba ye eyo,
        Evuddeyo,
        Yambala amaanyi go,
        Obudde bw'ekiro bukedde,
        Ye akubedde,
        Akuggye mu kabe ako.
  3. N'obulamu bwo enkeera,
        Busanyuke,
        Okuyita mu kabi ako,
        Olw'okubeerwa okuva gy'ali,
        N'ojja eri ye,
        Okusinza n'amaanyi go.

JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA

  1. JJANGU gye ndi bwe nzuukuka,
     Obudde nga busaasaanye,
    Osige mu mwoyo gwange,
     Ebirowoozo ebisaana.
  2. Jjangu gye ndi mu ggandaalo,
    Eby’ensi ebitaliimu,
    Bireme okuziikiriza,
    Omusana ogw’amaaso go.
  3. Akawungeezi ojje gye ndi
    Era bwe mba nkuvuddeko,
    Onkomyewo, onzibire,
    Mu nkwe zonna eza Ssetaani.
  4. Era mu ttumbi ojje gye ndi,
    Bwe neebaka amavumira,
    Nneme okutya akabi konna,
    Nga nkumibwa Omulokozi.
  5. Beeranga nange mu bulamu
    Beeranga nange mu kufa,

MUKAMA WAFFE BULIJJO

  1. MUKAMA waffe bulijjo,
     Mu linnya lyo tutanule,
    Tukole emirimu gyaffe,
    Twagala n’okumanya ggwe.
  2. Tukolenga by’oyagala,
    Tubeerenga mu maaso go,
    Tulabe n’omukisa gwo,
    Era tukusanyukire.
  3. Amaaso go gatulaba,
    Mukama otuzibire,
    Tukuwe n’emyoyo gyaffe,
    Tukole by’otulagira.
  4. Era tubeere abaddu bo,
    Tutunule, tusabe nnyo,
    Tukwatenga amateeka go,
    Tuwulire ebigambo byo.
  5. Kyonna kyonna kye tulina,
    Yesu, kikyo so si kyaffe,
     Tubeere naawe bulijjo,