TUZUUKUKE, TUZUUKUKE

  1. TUZUUKUKE, tuzuukuke,
    Emirimu tugikole,
    Tuve mu tulo, tweweeyo,
    Ssaddaaka ez’okumwebaza.
  2. Tufube nga twerowooza,
    Mpozzi olwa leero okufa,
     Tukulire mu mpisa ze,
    Tusuubire okujja kwe.
  3. Tubeerenga ba mazima,
    Bukuusa bwonna buggweeyo,
    Katonda amanyi eby’omunda,
    N’ebirowoozo abyekkaanya.
  4. Twakenga ng’omusana gwe,
    Amulisa ekkubo lyaffe,
    Nga bw’atuwa ebyaffe byonna,
    Tumuwe okwagala kwaffe.
  5. Tuzuukuke, tumwebaze,
    Awamu n’ababe bonna,
    Abayimba amatendo ge,

NGA BWE BUKEDDE OLWA LEERO

  1. NGA bwe bukedde olwa leero,
    Bwe tuyimusa bwe tutyo,
    Emitima gyaffe, tusaba,
    Otukuume olwa leero.
  2. Tuyambe obutayogera,
    Bya kuyombagana byonna,
    Kuuma, wunjula amaaso go,
    Okulaba ebitasaana.
  3. Kka, emyoyo gyaffe gibe,
    Mirongoofu nnyo mu byonna,
    Emibiri gyaffe eminafu,
    Biweebwe emmere y’obulamu.
  4. Bye tukoze byonna leero,
    Bitendereze Katonda,
    Ekiro ne bwe kinaatuuka,
     Tetuutye entiisa yonna.
  5. Otenderezebwenga nnyo,
    Ggwe Kitaffe era n’omwana,

YESU Mukama w’eggulu

  1. YESU Mukama w’eggulu,
     Ggwe kitiibwa kya Kitaffe,
     Ggwe musana gw’emirembe,
      Ogumalawo enzikiza.
  2. Jjangu Njuba y’omu ggulu,
     Tumulise n’ekisa kyo,
     Omwoyo wo Omutukuvu,
      Atuule mu myoyo gyaffe.
  3. Nyweza okukkiriza mu ffe,
     Ofuge emibiri gyaffe,
     Tuwe emirembe n’essanyu,
      Bukuusa bwonna buggweewo.
  4. Otukuze essanyu lyaffe,
     Mu lunaku lwaffe luno,
    Tuwe  fenna okukwebaza,
    Obudde nga buwungedde.
  5. Tukusaba kino kyokka,
    Otuwe okukujjukira,