MU KWETAAGA KWAFFE OKUNGI

EDDOBOOZI:    Lug 56  73 (56)"Mu  busiba nkukaabidde ggwe, Ayi Mukama"- Zab.130:1

  1.      MU kwetaaga kwaffe okungi
        Tukoowoola, Ayi Katonda,
        Tusaasire, tega okutu,
        Mukama bw'onoolabanga,
        Ebibi n'ensonyi eby'abantu,
        Aliyimirira aluwa.

  2.      Naye kino kye tumanyi,
        Nga waliwo okusonyiwa,
        Eri ggwe Katonda waffe,
        Awulira n'assasira!
        Ekigambo kyo, Ayi Mukama,
        Kye nsuubira annaku zonna,

TULI BONONYI DDALA.

  1. Tuli bononyi ddala,
        Abasibiddwa ebibi,
        Ggwe abeela abanaku,
        Otusaasire, Yesu.
  2. Tetulina bulungi,
        Mu byonna bye tukola,
        Ggwe otegeera bwe tuli,
        Otusaasire, Yesu.
  3. Tetwaηηanga kugenda,
        Gy'oli mu kitiibwa kyo,
        Eyamanyiira ennaku,
        Otusaasire, Yesu.
  4. Tetwaηηanga kugenda,
        Gy'oli mu kitiibwa kyo,
        Eyamanyiira ennaku,
        Otusaasire, Yesu.
  5. Ali omu  mu ggulu,
        Atulokola yekaa,
        Tatuggalira bweru,

BIKOOYESA EBIBI BYANGE

EDDOBOOZI :    CH563    71(54)"Kitange nnyonoonye eri eggulu ne maaso go"- Lik. 15:18

  1.     BIKOOYESA ebibi byange,
        Ne njagala okuwummula,
        Gw'oli kigo kyange, Yesu 

    CHORUS
    Mwe neekwekanga bulijjo,
    Ggwe muwoleza wange,
    Mukama wange ddala ggwe.

YESU FFE MU MAASO GO

  1. YESU ffe mu maaso go
        Tufukamidde leero,
        Twatula abibi bingi,
        Amaziga ne gajja,
        Ku lw'okwagala okungi,
        Okwakuleeta mu nsi,
        Ng'oyima waggulu ennyo,
        Yesu! Otuwulire.
  2. Ku lw'ekisa kyo ekingi,
        Ekyakufuula omwana,
        N'obuzaaliranwa bwo,
        Bwe wafuuka omuntu,
        Ku lw'okukemebwa kwo,
        Okw'entiisa mu ddungu,
        Ng'oyima waggulu ennyo,
        Yesu! Otuwulire.
  3. Ku lw'okusaasira kwo,
        Bwe wanyolwa omwoyo,

KATONDA, BWE BAALUMWA ENNYO

EDDOBOOZI :  AMR 333  69(52)"Musa---- n,akuba olwazi n'omuggo gwe--- amasassi mangi ne gavaamu"

  1.     KATONDA, bwe baalumwa ennyo,
        Ennyonta Abayisirayiri,
        Walagira Musa Bw'oti,
        Okukuba olwazi n'omuggo.
  2.    Mu lwazi olwakubibwa,
        Ne muvaamu amazzi mangi,
        Abaali balina ennyota,
        Baaganywa ne basanyuka.
  3.    Bwe tululaba olwazi olwo,
        Tulaba Yesu mu ngero,
        Gwe baakuba edda ku lwaffe,
        Ne muva omusaayi gwe.
  4.     Bwe tubeera mu nsi muno,

EKIRO KYA SSEKUKKULU

  1. EKIRO kya Ssekukkulu,
        Amaloboozi g'ebide,
        Gaavuga okutegeza,
        Amawulire agessanyu ,
        Okubuna abantu boona,
        "Azaaliddwa Omulokozi".
  2. Ebigambo  eby'essanyu,
        Ebya bamalayika abo
        Abaalanga okujja kwe,
        Kabaka wa bakabaka,
        Mukama ow'abakama,
        Atenderezebwe bonna.
  3. Kaakano Omulokozi,
        Azaaliddwa mmwe gye muli,
        Bamalayika bayimba,
        Nga balanga okujja kwe,
        Mu ggulu era ne nsi,
        Emirembe gibe mu mmwe.

ENKYA BW'ONOOZUUKUKANGA

  1. Enkya bw'onoozuukukanga,
     Nga tosoose mirimu,
    Sooka osome mu kitabo,
    Yesu gya yawandiisa,
    N'ofukamira mu maaso,
    Ga Katonda Omulamu, Anaakuwanga omukisa,
    Bwomubuulira byonna.
  2. Oba ssanyu, oba nnaku,
    Bwe bijja gy'oli leero;
    Tebiireme kukusanga,
    Nga weeteeseteese nyo.
    Totya maanyi ga mulabe,
    Ssetaani muwangule, Onoomukubanga enfuka;
    Bw'onokkiriza Yesu.
  3. Ebigambo bya Katonda,
    Bikulisa omwoyo gwo,
    Nga bw'obyekkaanya era bw'otyo,
    Bw'olaba emirembe gye.

yobu 30:1-31

  1. Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.
  2. Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki?

yobu 25:1 -6

  1. Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
  2. Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
  3. Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe?
  4. Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
  5. Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
  6. Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!