Zabbuli

Zabbuli 71:1-24

  1. Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
  2. Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole.
  3. Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
  4. Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
  5. Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
  6. Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wamiya mu byenda bya mmange: