Zabbuli 22:1-31

Ya mukulu w’abayimbi; y'ekya Ayijeresi-kassakali Zabbuli ya Dawudi.

  1. Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?
  2. Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika.
  3. Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.
  4. Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya.
  5. Baakukoowoolanga ggwe,ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.
  6. Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.
  7. Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti
  8. Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira.
  9. Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange.
  10. Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.
  11. Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba.
  12. Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.
  13. Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.
  14. Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange.
  15. Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.
  16. Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi baataayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.
  17. nyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso:
  18. Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange:
  19. Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.
  20. Wonya emmeeme yange eri, ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa:
  21. Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.
  22. Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga.
  23. Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe amwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
  24. Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo analcuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
  25. Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.
  26. Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.
  27. Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.
  28. Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga.
  29. Abagewu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
  30. Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.
  31. Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa; nga ye abukola: