Zabbuli 23:1-6

Zabbuli ya Dawudi.

  1. Mukama ye musumba wange; seetaagenga:
  2. Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: AntwaIa ku mabbali ag'smazzi amateefu.
  3. Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
  4. Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisukirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
  5. Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.
  6. Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.