Zabbuli 24:1-10

Zabbuli ya Dawudi.

  1. Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu.
  2. Kubarrga yagisimba ku nnyanja, Yaginyweza ku mazzi amangi
  3. Am alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era am aliyiminira mu kifo kye elutukuvu?
  4. Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiriranga bwereere.
  5. Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
  6. Egyo gye mirembe gy'abo abamuaoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera
  7. Muyimuse emitwe gyamniwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
  8. Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza Mukama ow'obuyinza mu kulwana.
  9. Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
  10. Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera