Zabbuli 25:1-22

Zabbuli ya Dawudi.

  1. Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
  2. Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula.
  3. Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.
  4. Ondage: amakubo go, si Mukama; Onjigirize empenda zo.
  5. Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
  6. Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda, n'edda lyonna
  7. Tojjukira bibi bya buwbuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama.
  8. Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
  9. Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
  10. Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe:
  11. Olw'erinnya lyo, si Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
  12. Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.
  13. Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi.
  14. Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye.
  15. Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
  16. Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
  17. Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange.
  18. Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
  19. Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe.
  20. Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Tontlanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
  21. Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe.
  22. Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna.