Zabbuli 26:1-12

Zabbuli ya Dawudi.

  1. Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
  2. Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange.
  3. Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go.
  4. Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
  5. Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi.
  6. Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
  7. Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo:
  8. Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu,
  9. Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi:
  10. Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
  11. Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire.
  12. Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama.