Zabbuli 27:1-14

Zabbuli ya Dawudi.

  1. Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?
  2. Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange, Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa.
  3. Newakubadde ng'eggye lisiisidde okunnwanyisa, Omutima gwange teguutyenga: Newakubadde ng'entalo zimbaddeko, Era ne mu ezo naagtmianga omwoyo.
  4. Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye.
  5. Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi.
  6. Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama.
  7. Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozilyange: Era onsaasire, onziremu.
  8. Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganaonyanga.
  9. Tonlusa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange.
  10. Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga.
  11. Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange.
  12. Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe.
  13. Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.
  14. Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.