Zabbuli 29:1-11

Zabbuli ya Dawudi.

 1. Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
 2. Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira; Mumusinze Mukama mu butuukiriw obuwooma.
 3. Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi: Katonda ow'ekitiibwa abatuka, Ye Mukama, ku mazzi amangi.
 4. Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
 5. Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
 6. Era agizinyisa ng'ennyana; Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo,
 7. Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro.
 8. Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
 9. Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.
 10. Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna.
 11. Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe.