Zabbuli 30:1-12

Zabbuli; oluyimba Ennyumba bwe yatukuzibwa; Zabbuli ya Dawudi.

  1. Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange.
  2. Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya.
  3. Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe: Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
  4. Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
  5. Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
  6. Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna.
  7. Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
  8. Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama; Era Mukama ne mwegayirira;
  9. Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
  10. Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
  11. Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
  12. Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.